Omaanyi ebinuuma, byonna ebimenya
Naye ng'okyaali kuntebbe
Njakuwangula kubanga oli nange
Wewaawo amaanyi sirina
Oluusi n'ekibi kintwalaganya
Naye bw'onkwaata ku mukono
Njakuwangula Kubanga oli nange
Ooh mp'amaanyi
Ooh mpa'amaanyi
Mpangule
Nyamba nywerere kuggwe
Wadde ebinsigula byo bingi
Era Yesu gwe afuga
Nyambaaza ekisakyo buli lukya
Maanyi ebiro biri kumpi
Mpanirira ntuuke w'oli
Era bw'onkwaata ku mukono
Njakuwangula kubanga oli nange
Ooh mp'amaanyi
Ooh mpa'amaanyi
Mpangule
Ooh mp'amaanyi
Ooh mpa'amaanyi
Mpangule, mpangule
Mpangule
Mpanguza Yesu mpanguza
Mpanguza Yesu mpanguza
Ooh, Mpanguza